Akaffekye (Acoustic Version) 歌詞
Akaffekye (Acoustic) - Rema Namakula
Lyrics by:Rema Namakula
Composed by:Rema Namakula
Aaahhmmm
Omanyi buli kimu
Kyabala mu nze
Lino taka jimu kwosiga
Nabala amatooke
Ndiko namayuni
Ndi musili gwa
Ffene n'embogga
Nze maama yansimba
N'omuddo Nakoola
Kati buli kimu kyabala
Yansunsula mu
Matabbi n'obukoola
Ebijimusa nabyo byanoga
Yafukilira bulungi
Ng'ekyeya kisusse
Akasana kaleme okuunjokya
Yankuza natuuka okumulisa
Nga buli kyesako
Kiri mu milimba
Nina bingi byotanalaba
Era bingi ebyekwese munda eyo
Nze eka bantendeka najula
Akafee che
Aah
Nina bingi byotanalaba gwe
Aah
Bingi ebyekwese munda eyo
Nze eka bantendeka najula
Akafee che
Njilako okulya akajaaja
Kachai akawoomu akasinga
Akakujamu akawewo
Nkubikengaaah
Nze maama yanyonsa bulungi
Buli kitundu kunze
Kiri mukifo kyakyo
Nalukibwa kalangabi
Nsansa ku mugoogwa
Luwombo lwe nkoko lwagalwa
Naye tonywelangako
By'otonywa
Otunulanga kunze honey
Stress etele egende
Nawulirako kuba kawomera
Kunze kwoli koma n'owoola
Ndi kubika love ebikunta
Obisibe mu kaveera
Ndi kubika love ebikunta
Obisibe mu kaveera
Nina bingi byotanalaba
Era bingi ebyekwese
Munda eyo
Nze eka bantendeka najula
Akafee che
Aah
Nina bingi byotanalaba gwe
Bingi ebyekwese munda eyo
Nze eka bantendeka najula
Akafee che